BYBY

MU BUGANDA OMULONGO ASOBOLA OKUWEBWA OBUSIKA?

Mar 29, 2026 Official Media 1 Views
MU BUGANDA OMULONGO ASOBOLA OKUWEBWA OBUSIKA?
MU BUGANDA Omulongo oba Ssalongo tebasika era singa ozaala abalongo nga olina kifundikwa kyonna okizaayo ne bakiwa omuntu omulala. Kino kiri bwekityo kubanga Omulongo mu Buganda awanuzibwako bingi nnyo obyoleka amaanyi ag'enjawulo agazaalibwa naye, ekyo kimuteka ku mutenderera omulala nga tasobola ate kuwebwa buvunanyizibwa bwa kusikira muntu yenna. Era nazzi kuno nga Abalongo bonna mu Buganda Kabaka asiima okubasisinkana olw'ekyo kyebali mu butonde bwabwe. Abalongo mu Buganda be baana abazaalibwa nga bali ba biri(2), oli singa azaala abaana basatu abo tebayibwa balongo. Muffe Abaganda Obulongo kintu kikulu nnyo era mwe musibye amaanyi ag'enjawulo mubutonzi bwaffe. Ekyo kyeyolekera mu butonde bwa buli muntu oba ekitonde kyonna ekirina obulamu. Ensonga endala, Omuganda yayagala nnyo obwenkanya mu buli nsonga, olw'okubeera nga bano bazaaliddwa 2, yakiraba nga si kyabwenkanya ate omu okumusukulumya ku munne munsonga eyo, eyo yensonga eyokungulu lwaki tebasika, naye ey'omunda yeyo gyensoose okubawa waggulu awo. Era buli asikiza omulongo akikola mu bukyamu ENSONGA Y'OMUKOLO Mupisa ne Nnono zaffe abaganda tekikirizibwa kukolebwa okuteekawo omukolo gw'essanyu nga wakyaliwo amaziga mu Nnju eyo. Era kisobola okuvako obuzibu obutali bumu munyumba eyo singa kikolebwa. Okuteegera ensonga eno olina okuteegera Omuganda gyavudde, okuva edda ennyo ennyo nga Abaganda tebanatandika kuzimba nnyumba bafunanga emiti eminenne ennyo egirina emirandira eminenne kungulu nga bwe mulaba kati omuti gwa Nakayima, awo webatekanga amaka gabwe, ssemaka bweyafanga kyabanga kyanaku nnyo era bawanuzanga nti olumbe olwo lujja kubatwala bonna, era nga basenguka banonya awalala webasobola okuteka amaka. Ekiseera kyagenda kiyita nga batandise okukowa okusengukanga buli muntu lwe yabafangako, olwo ne batandikawo omukolo gw'okwabya olumbe n’ekigendererwa eky'okujjawo olumbe olwo abantu abalala luleme okubatwala, okwabya olumbe mukolo mukulu nnyo nnyo munnono zaffe abaganda yensonga lwaki tekirizibwa kukola mukolo gwa ssanyu nga tegunaba kuvawo. Bajjajjaffe bakimanya nti singa bakikola nga tewali mbeera eyo abantu tebajja kuteka maanyi mu mukolo guno yensonga lwaki bagunyweza mu Nnono nti tosobola kugubuuka n'okola omukolo ogw'essanyu. Singa omukolo gw'essanyu guba gwakubeerawo waliwo ebikolebwa eby'omunda okuleka omukolo gugende mumaaso naye ensonga erina kubeera nkuulu. Ebikolebwa tetugenda kubyogerako wano kubanga ebya byaffe byamunda nnyo. Awangaale Ayi Ssaabasajja Kabaka.
Share:

Comments (2)

K
Kamuze Jonathan omuzira nva eyeddira Empindi okuva mukyaggwe
Mar 29, 2026
Admin webale nyo onyonyodde bulungi era nsubira Dr. Spire anafuna obudde nayita mukiwandiiko kino. Eri ku X tuyisa kungulu 🥰. Nze @kethancreation ku X
K
Kibirige Deo
Mar 29, 2026
Thanks so much for the updates
Leave a Comment