Olwaleero, Nnalulungi w'Ebyolambuzi mu Buganda omuggya 2026-2027 Queen NABASUMBA RAHUMAH akwasiddwa ettaka lye yawangula nga #MissTourismBuganda2026.
Nnalulungi okukwasibwa ettaka lino awerekeddwako Ssentebe wa #MissTourismBuganda2026 Mw. Kyagulanyi Shafik, Omuwandiisi Mky. Mastula, n'akulira eby'emikolo (Event Manager) Mw. Ssemanda Abdul, nga bali wamu n'eyamuddirira (1st Runner-up) e Katende Mawokota.
Bwabadde amukwasa ettaka lino, Dayirekita wa NEW DESTINY PROPERTY SERVICES & CONSTRUCTION CO LTD yeebazizza nnyo Obwakabaka bwa Buganda okuyita mu kitongole kya BHTB, olw'okubakkiriza ne babawa omukisa okuvujjirira enteekateeka eno ennungi.
Mw. Muwanguzi Peter, era yasuubizza nti agenda kufunira n'abawala abaaddirira omuwanguzi (1st & 2nd Runners-up) ettaka, okubasiima olw'okuvuganya okulungi kwe baayolesa mumpaka za Nnalulungi w'Ebyolambuzi ezaliwo nga 24/07/2026. Agasseko nti kkampuni ye egenda kusigala ng'evujjirira empaka zino n'emyaka egigenda okujja.
Ku ludda lwe, Queen Nabasumba bwabadde akwasibwa ettaka lino, yeebazizza nnyo kkampuni ya NEW DESTINY PROPERTY SERVICES olw'okusuubiza ne batuukiriza mu bwangu ddala. Akunze abantu ba Kabaka bonna naddala abavubuka abaagala okufuna ettaka bagende bagule ku kkampuni eno kuba nneesigwa.
Ssentebe wa Miss Tourism Buganda, Mw. Kyagulanyi Shafik, yeebazizza abakulu bano nga bakulembeddwamu Mw. Muwanguzi era n'asuubizza nti enkolagana eno egenda kugenda mu maaso okulaba ng'emirimu gitambula bulungi. Asuubizza okulaba nga Queen ne banne bafuuka ba Ambasada (Ambassadors) ba NEW DESTINY PROPERTY SERVICES & CONSTRUCTION CO. LTD.
#MissTourismBuganda2026
#BugandaYiyo_BugandaYange