Mu Buwangwa, eNnono n'empisa enkulu ez’obwakabaka bwa Buganda okufuna Kabaka omuggya okulamula Obuganda bingi ebikolebwa bwetuyita wekissize byetutagenda kwogerako wano.Naye waliwo ebitonotono byetusobola okubabulirako okulaba nga mutambula n'okumanya.
1. EMPISA EGOBERERWA OKUKAKASA OMULANGIRA ANALINNYA KU NNAMULONDO. ( Obubonero Obwenjawulo Omulangira bwazaalibwa nabwo).
Kabaka azaalibwa nga Kabaka, ng'alina obubonero obumwawula ku banne bw'ajja nabwo. Buno bwe bubonero Naalinnya ne Nabikande bwe bagenda okulaba mu ssanya ku buli mwana w'eŋŋoma azaalibwa. Okugeza ng'okujja n'endira ebbiri, okujja n'ebbala eritatera kulabikalabika ku mubiri oba mu kibatu. Nnaalinnya y'alina obuvunaanyizibwa era y'abumanyi. Omulangira azaalibwa n'obubonero obwo, y'alya Obwakabaka. Kyetuva tugamba nti Obwakabaka bwa nsikirano era nti Abatanda beezaala. Amakulu nti Kabaka azaala Kabaka.
Naalinnya olulaba obubonero buno, akwata mangu endira z Omulangira oyo zombi n'azikweka, n'atumya mangu Mugema, anti ye nannyini tu, olwo ye n'adduka okugenda ewa Kabaka okumuwa amawulire. Olutuuka ng'amugamba nti, "Nzize kubika. Omutemu azaaliddwa". Oyo ye Mulangira ayitibwa omutemu. Kabaka kino akitegeera mangu, era amangu ago alagira Kasujju atwale Omulangira oyo awamu n'Omuzaana Kabejja, Nakazadde alibeera Namasole, amukweke mu kakomera mu kifo Kabaka ky' abeera alonze.
Omulangira oyo tasula mu lubiri, anti bakabaka ababiri tebasula mu Lubiri lumu, anti Omutaka talya Mutaka munne. Kabaka olumala okulaba ku Mulangira oyo, nga bamutwala n'Omuzaana Kabejja. Kabaka taddayo kubeera ne Kabejja oyo, era ne Kabejja oyo taddayo kubeera na muntu yenna, kubanga Kabaka tazzibwako. Kyokka ye Kabaka agenda mu maaso n'okuzaala mu bazaana abalala. Omulangira oyo akulira mu bantu aba bulijjo asobole okutegeera n'okwagala abantu baagenda okufuga.
Akasera akalala kakwatagana ne Lukenge: Omulangira ng'anaatikkirwa, ekiro ekyo Omusambwa Lukenge gumulinnya ku mutwe n'alonda Omulangira anaakongojja Lukenge ne Mukebera. Omulangira oyo abeera alondeddwa emandwa ezo zombi zimukwatirawo, Kabaka ne zimuvaako. Kano nako kasera ka Kabaka obutabuusibwabuusibwa. Omulangira Kabaka gw'akwasa Lukenge taddayo kufuluma lubiri. Abeera omwo okukebera, okulabula n'okukuuma Kabaka.
Kabejja ye muka Kabaka yenna. Amala kuzaala n'afuuka Omuzaana. Omuzaana amala kuzaala Mulangira ow'ensonga, olwo n'alyoka ava ku Buzaana n'afuuka Nnaabagereka, oba Kaddulubaale. Mutabani we olulya Obwakabaka nga bba akisizza omukono, olwo ng'afuuka Namasole. Empayira y ekinnadiini ey'okugatta empeta,yatandika okusimba amakanda ku mulembe gwa Ssekabaka Dawudi Ccwa. Empayira eyo Kabejjj atemufuula Naabagereka, kubanga asobola obutazaala Mulangira wa nsonga, oba okuzaala Abambejja bokka. Erinnya Nnaabagereka lya Baabutiko. Nnaabagereka Owoobutiko eyasooka, yaganja nnyo ewa Ccwa I. Yazaala Omulangira Ndawula ataasikira Bwakabaka. Kyokka olw'obuganzi obuyitirivu bwe yalina, Kabaka yalagira nti Omuzaana anaazalanga Omulangira alirya Obwakabaka, ayitibwenga Nnaabagereka okujjukira Omuzaana we omwagalwa. Okuva olwo Obwannaabagereka bwafuuka ekitiibwa so nga mu Boobutiko linnya lyabwe era bakyalituuma.
Omulangira ng'ali eyo mu kakomera, Nnaalinnya y'abeera alina obuvunaanyizibwa okukuuma ekyogero, okutereka engozi, obubugo oba obugoye bw'Omulangira. Beegendereza nnyo era ebeerayo emikolo egikolebwa ku Mulangira oyo amangu ddala nga yakazaalwa, era ne mu Kakomera mw'abeera ateereddwa. Abajjwa baasobolanga okubwanula ne babukweka, olwo Obwakabaka baabeeranga babwanudde. Baaweebwanga ebintu bingi, ng'ente embuzi, enkoko, embugo, ensimbi okusobola okuzza Obwakabaka.
Kabaka bwe yakisanga omukono, ng'Obuganda tebunnabikirwa, Katikkiro, Nnaalinnya, Kasujju ne Nadduli Kibaale nga bamala kutuula. Katikkiro atuma Kasujju okuleeta Omulangira anaalya Obwakabaka. Kasuju yagendanga mangu n'aleeta Omulangira oli ow'ensonga gwe baamuteresa. Kasujju n'olwekyo si yalonda Kabaka. Omulangira olumutuusa awali Katikkiro, ng'olwo Katikkiro abikira Obuganda nti "Omuliro guzikidde, bbaffe akisizza omukono". Bino byonna nga bikolebwa mu kwerinda okw'ekitalo. Obuganda. Olwaleetanga Omulangira, nga Nadduli Kibaale aweebwa endira z'Omulangira oyo, ziri Naalinnya ze yatereka. Olwo Nadduli Kibaale n'aleeta akabugo Omulangira abikke enjole ya Ssekabaka. Akabugo Nadduli akakwasa Kasujju, akola omukolo gw'okubikkisa ako. Omulangira abika akabugo y'abeera Kabaka. Atabikka kabugo talya ntebe eyo. Era olumala okubikka akabugo, nga bamuteeka mu kakomera.
Omulangira mu kakomera bamuggyawo oluvannyuma w'ennaku m e n d a , olwo ng'asigalidde kukola Kasera, emikolo egimunyweeza ku Namulondo. Taddayo kutunula ku muntu yenna afudde, era tazika. Oluggyawo Kabaka, mu kakomera, nga Nadduli Kibaale ayita Muwunda Owengo okuggyako akaba k'omubuze, nga bamuwa n'obulira bw'Omulangira asise buli obwaterekebwa Nnaalinnya, ng'agenda okubiwunda. Endira eziwundibwa, ye Mulongo wa Kabaka omupya. Akaba bakawunda ne kazimbirwa amasiro mwe baaterekanga buli kantu aka Ssekabaka oyo. Ago ge Masiro ga Ssekabaka oyo abantu gye bagenda okumulabako n'okulanya.