BANNALULUNGI B'EBY'OBULAMBUZI OKUVA MU MASAZA 11 BASUNSUDDWA OKWETABA MU MPAKA ZA #MISSTOURISMBUGANDA2026

Jun 09, 2026 43 Views
BANNALULUNGI B'EBY'OBULAMBUZI OKUVA MU MASAZA 11 BASUNSUDDWA OKWETABA MU MPAKA ZA #MISSTOURISMBUGANDA2026
Nga 08/06/2026, olukiiko oluteekateeka #MissTourismBuganda2026 ku lw'ekitongole kya Buganda Heritage and Tourism Board, lusunsudde ba Nnalulungi b'Ebyobulambuzi okuva mu Masaza 11 agatasobola kutegeka mpaka zino mu masaza gabwo. ​Bano basunsuddwa ku mukolo ogutegekeddwa ku maka g'ekitongole ky'ebyobulambuzi mu Buganda e Mmengo okulirana Olubiri lwe Mmengo. Era omukolo guno gwetabiddwako okusingira ddala abawala ababadde bavuganya wamu n'emikwano gyabwe ababawerekeddeko. ​Abawala bano bavudde mu masaza okuli: Buweekula, Kooki, Busujju, Bulemeezi, Kabula, Mawokota, Gomba, Bugerere, Mawogola, Buvuma ne Butambala era nga natikiddwa engule zabwe ku mutenderera gw'Essaza. Bano bagenda kweyunga ku bannaabwe abasunsulwa edda mu Masaza agasobola okutegeka empaka zino okuli: Busiro, Kyaddondo, Kyaggwe, Ssingo, Buluuli ne Ssese. ​Oluvanyuma lw'okukomekkereza enteekateeka y'okufuna abagenda okukiikirira amasaza mu mpaka za #MissTourismBuganda2026, kati okuvuganya kutandise waggulu ku mutendera gwa Buganda yonna. Enteekateeka zino zisuubirwa okutandika mu butongole okuva nga 02/07/2026, olwo empaka z’akamalirizo zibeerewo nga 24/07/2026 ku Hotel Africana, ng'Obwakabaka bufuna ba Nnalulungi basatu (3) abagenda okukiikirira Buganda ku mpaka za Nnalulungi w'Ebyolambuzi mu Uganda yonna. Ssentebe w'olukiiko oluteekateeka #MissTourismBuganda2026, Mw. Kyagulanyi Shafik, yeebazizza nnyo Abaami b'Amasaza gonna 18 mu Buganda, abakulira ebitongole by'obuwangwa n'obulambuzi mu masaza, abazadde b'abaana, wamu n'abantu ba Ssaabasajja Kabaka bonna abavuddeyo mu bungi okuwagira enteekateeka eno ku mutendera gw'amasaza. Wano era akowoodde ebitongole n'abantu ba Ssaabasajja Kabaka okujja okwongera okubakwasizako, kubanga kati empaka we zituuse, weetaaga nnyo obuvujjirizi
Share:

Comments (0)

Loading comments...

Leave a Comment