EMMWANYI ERI OMUGANDA YE NTABIIRO YE NNONO.

Sep 16, 2026 65 Views
EMMWANYI ERI OMUGANDA YE NTABIIRO YE NNONO.

   Mu Buganda EMMWANYI si kyatunzi kyokka nga ebitundu oba ensi endala bwekiri. Ffe okuva edda n'edda nga Omuzungu tanaba kujja nga emwanyi yemu ku Mubumbiirano gwe Nnono n'obuwangwa mu Baganda, kinno kitambudde okutuuka leero. 

 

Mukirize tubalage lwaki EMMWANYI n'Omuganda totekedwa kubyawula. 

 

1. ENTABALUGANDA: Okuva edda nga omuganda atabagana ne bantu banne mungeri eno. Era wanno omuganda agabula emwanyi n'olwendo okulaga okutabagana n'omuntu omulala. Abazungu okuleta kunno enkola y'okusembera omubiri n'omusayi gwa Yesu batusanga n'enkola yaffe eya Katta mukago. Mungeri eno emmwanyi yesooka okugabulwa nga tebanaba kukola kintu kyonna. 

 

2. AKATTA MUKAGO: Wadde mu Abaganda tutambulira mu Bika byaffe era tumanyi nti buli yenna eyeddira ekika kyo abeera mugandawo. Okuva edda n'edda omuganda yamanya nti oluganda lusuuka kwekyo. Era nazzikuno nga singa omusajja asanga musajja munne ne bakolagana bulungi. Bafuukanga ba luganda, era nga bakozesanga EMMWANYI emu(1) ne bajjamu emiramwa gyayo buli muntu natwalako gumu, nasala ku kundi nafunako omusayi nasiiga ku mulamwa gwakutte bwatyo namala naguwa munne nagulya nga bwebogera ebigambo ebiraga oluganda olugatidwa.

 

3. OKWALULA ABALONGO/ABAANA : egimu kumikolo mu Baganda kwe kwalula abaana kubanga ginno yengeri omuganda gyeyakakasangamu nti ddala omwana wuwe ate era yengeri omwana oyo gyeyayitangamu okunywezebwa buvunanyizibwa bwe mu maka ne mu Buganda. 

 

4. EMIKOLO EGIDDA KUBUFUMBO, nga OKUKYALA, KASUZEKATYA, OKWANJULA, OKUZZA OMUZIGO NEMIRALALA: Emwanyi kabonera kakulu nnyo mu mikolo egyo kubanga ekozesebwa nga ekijjulo ekikulu ekisooka era n'okugatta ennyumba 2 omuva abaana abafumbiriganwa. 

 

5. OMUNTU NGA ASENZE MUKITUNDU EKIJJA: Omuganda nga bwali muganda wa Katonda amanyi nti Katonda bweyali abangawo ensi eno yagitonderamu ebintu bingi. Era ebimu kubyo gy'emyoyo egitalabika egikuuma ensi eno. Kya Nnono omuganda bweyagendanga mukitundu ekipya, yasookanga okugabula Emisambwa EMMWANYI nga okutabagana awamu najjo obutafuna buzibu. 

 

6. EMIKOLO EGIDDA KUNSINZA Y'OMUGANDA

i). Akagula; omuntu yenna bwatuka musabo agabulwa EMMWANYI era ne mukutandika emikolo emikulu era asooka kulya mmwanyi nga akabonero akokugulira obw'empewo zamwe.

ii). Amakula: Singa wagendanga musabo nga tolina jjamba wafunanga amattu gemwanyi n'ogatwala eri abakulu nga amakula Abakulu okukukolera kunsonga zo.

iii). Okusumululwa: Mu mikolo egikolebwa ku muzzukulu mwe muli okusumululwa era nga wanno bakozesa ettu ly'emmwanyi oba enkatta okukusumulula.

iv). Emikolo gyokunyanja: Omuganda bweyatuganga ku Nnyanja nga amanyi bulungi nti Jjaja Mukasa yafugira ku Nnyanja era yatandikanga n'omukolo gw'okumugabula ekijjulo era wanno akozesa mmwanyi. Era kinno bwekityo bwekibeera nekunzizi ezenkizo mu Buganda. 

 

Ebintu bingi nnyo tetusobola kubimalayo wano kubanga ebimu kwebyo emmwanyi byekola bya ndeeku ngunda(tetusobola kubyogera wanno)

 

Nabwekityo twongera okukubiriza abaganda okwongera amaanyi mukulima emmwanyi. 

 

Share:

Comments (0)

Loading comments...

Leave a Comment