Okujjukira Okuddizibwa Obwetwaze n’okunyweza Ekitiibwa ky’Obwakabaka bwa Buganda.
Nga Buganda ejjukira olunaku olwa 08 Mukulukusabitungotungo (10), lwe yaddizibwa obwetwaze bwayo n’okuva mu mikono g’Abangereza mu mwaka gwa 1962, ekibiina kya Buganda Yiyo Buganda Yange kyegatta ku Bantu ba Ssaabasajja Kabaka okwetolola ensi yonna okukuza okuzaalibwa obuggya kw'amaanyi n'enteekateeka y'Obwakabaka bwa Buganda.
1. Buganda Yaddizibwa Obwetwaze — Bwali Bubaka bwa Meefuga na kitiibwa. Kikulu okumanya nti olunaku luno si lunaku lwa 'kuweebwa' bwetwaze okuva eri abazungu, wabula kwekutula ku 'buddu' n'okuddizibwa obwetwaze obw’obutonde, obw’Omutonzi obwali mu Bwakabaka bwa Buganda okuva edda n’edda.
Nga Ssekabaka Muteesa II ayingira endagaano ey’omuwendo eya nga 8/10/1962 n'Omulangira Edward (Duke of Kent), Buganda yakakasa ebyafaayo byayo ebyagiweesa ekitiibwa n'okubeera omusingi omunywevu ogw'Ameefuga ga Uganda.
2. Okuyita mu Kusomooza: Emyaka 64 mu Kuzaalibwa Obuggya: Emyaka 64 nga Buganda eyita mu kusomoozebwa, ebizibu, n'okugezesebwa kungi mu by’obufuzi n’eby’enfuna, ekitiibwa ky'Obwakabaka kikyayimiridde n’amaanyi:-
Ennono n'Empisa: Obuganda bulina emere n'empisa ezitambula n'ennono ezitasobola kusasika.
3. Okwolesebwa n'Amaanyi ga Buganda Yiyo Buganda Yange: Nga ekibiina n'omukago ogulwanirira obumu ku mikutu emigatabantu, Buganda Yiyo Buganda Yange enywerera ku bino:-
Okuvujjirira n'Okwagala Nyaffe Buganda; Okugenda mu maaso ne kampeyini ez'okukuuma n'okunyiikiza ebyobuwangwa, Luwalo Lwaffe, n'okuzimba eby'enfuna n'eby'obulamu mu Buganda;
Okukuuma Omusingi n'Ebyafaayo — Okutumbula ebikolebwa mu Bwakabaka ku mikutu gya yintaneeti, okusaasaanya amazima ku byafaayo n'ekitiibwa kya Buganda eri emirembe egijja;
Obumu mu Bwakabaka: Okusimba essira ku bumu, empisa, okutuukiriza obuvunaanyizibwa bw'Ameefuga, n'okubeera omumuli mu kuzimba Nyaffe Buganda.
Awangaale Ssebuufubwango!
#BugandaYiyo_BugandaYange