MISS TOURISM BUGANDA 2026

SSAZA BULUULI: NALUBEGA ANNE CLAIRE MUZZUKULU WA NSAMBA YASITUKIDDE KU BWA NNALULUNGI W'EBYOLAMBUZI OMUGGYA 2026-2027 MU BULUULI.

May 25, 2026 Official Media 1 Views
SSAZA BULUULI: NALUBEGA ANNE CLAIRE MUZZUKULU WA NSAMBA YASITUKIDDE KU BWA NNALULUNGI W'EBYOLAMBUZI OMUGGYA 2026-2027 MU BULUULI.
NALUBEGA ANNE CLAIRE Muzzukulu wa Nsamba ye Nnalulungi w'Ebyolambuzi omuggya 2026-2027 mu Ssaza lya Ssaabasajja Kabaka @EssazaBuluuli. Queen Nalubega okuwangula obwa Nnalulungi yabadde avuganya ne banne abalala 5, empaka ezayindidde ku Freedom cottages Kakoge Ssaza Buluuli. Ono yaddiriddwa 1st Runner NAKIIBI GERTRUDE ne 2nd Runner NAMBAZIRA TRICIA. Nga banno 3 be bagenda okukikirira Essaza Buluuli ku mpaka z’akamalirizo ez’Obwakabaka bwa Buganda 2026-2027. Omwami w'Essaza Buluuli ekyakikiriddwa Omumyuka ow'okubiri Oweek Ssebaale Johnmary mu bubaka bwe eri abantu ba Kabaka mu Buluuli yabasabye okwongera okunyweza obumu era yabakuutidde bulijjo bakole nnyo okulaba nga bazza ensi yabwe Buganda ku Ntikko. Ono yebazizza nnyo abazzadde abawaddeyo abaana babwe okwetaba mu mpaka zino era bwatyo nasaba abazzadde okwongera okuwagira abaana babwe, ng'amaliriza bwatyo tasabye abaana abawala abayisewo okugenda okukikirira Essaza lino bulungi bwebatyo bakomewo n'enguule y'obwa Nnalulungi 2026-2027 nga bwe kibadde ku Queen Nambaziira Joan. Omwami wa Kabaka eyawumula Oweek Gerald kyanjo eyali alamulirako Kabaka's Essaza lino, yebazizza nnyo Ssaabasajja Kabaka okutekawo enteekateeka eno ey’ekitiibwa gyeyategezeza nti egenda kwongera okuyamba abaana abawala okwongera okwekiririzamu wamu n'okubeera ab'enjawulo munsi yonna. Wano yasabye abantu ba Kabaka bonna mu Ssaza okuvayo okujjumbira enteekateeka nga zino n'endala ez'enjawulo ezitekebwawo Obwakabaka okusitula embeera z'abantu bwabwo. Ssentebe w'olukiiko oluteekateeka mungeri ey’enjawulo yebazizza banna Buluuli okuwagira abaana babwe ekintu ekyasobozesa Omwana wabwe Nambaziira Joan okusitukira mu mpaka z'Obwannalulungi wa Buganda yonna. Omukolo gwabadde mulungi nnyo era gwetabiddwaako abantu ba Kabaka bangi nnyo ddala. #TourBuganda #MissTourismBuganda2026 #BugandaYiyo_BugandaYange
Share:

Comments (0)

No comments yet. Be the first to share your thoughts!

Leave a Comment