BYBY

EKIBIINA KYA BUGANDA YIYO BUGANDA YANGE KITONEDDE POOKINO NURSERY SCHOOL AMASANNYALAZE.

Mar 21, 2026 Official Media 1 Views
EKIBIINA KYA BUGANDA YIYO BUGANDA YANGE KITONEDDE POOKINO NURSERY SCHOOL AMASANNYALAZE.
Ppookino yebaziza nnyo ekibiina kya BUGANDA YIYO BUGANDA YANGE era atendereza omulimu ogukoleddwa okuteeka amasannyalaze mu bizimbe bye ssomero byonna. Ategezeza nti "Mukoze omulimu gw'amaanyi ennyo era muwadde Kabaka essanyu". Obubaka bwa Ppookino bwetikiddwa Omumyuka we era avunanyizibwa ku ssomero lino Oweekitiibwa Muwanga Dick bwabadde ku mukolo gw'okukwasibwa amasannyalaze agabaweereddwa Ekibiina kya Buganda Yiyo Buganda Yange. Ye Ssentebe mu bubaka bwe ajjukiza abantu ba Ssaabasajja Kabaka bonna okukomyawo omwoyo gwa Bulungibwansi kiyambe ensi Buganda okuddamu okubeera ettendo. Omukulu akulembera essomero lino n'essanyi lingi yebazizza nnyo abakulembeze ba BYBY wamu n'abantu bonna abatodde okulaba nga essomero eryo lifuna amasannyalaze. Era Ekibiina kino kitonedde abayizi ebikozesebwa mu kusoma eby'enjawulo omulimu: Ebitabo, Pencil, Maniral Paper, Ruler 📏 n'ebirala bingi n’ekigendererwa ky'okusobozesa abayizi okusoma obulungi. Ssaabasajja Kabaka Awangaale. #BYBYBulungibwansi #BugandaYiyo_BugandaYange
Share:

Comments (0)

No comments yet. Be the first to share your thoughts!

Leave a Comment