Okwagala ensi yo, okwagala e Kika kyo, okwagala Kabaka wo kiva mu mwoyo ogukulira mu muntu okuva mu buzaale. Tebabisomesa mu somero. Omukazi olufuna olubuto nga batandika okumutendeka nga bw'ateekwa okweyisa nga ali lubuto. Akwata ku lubuto n'agenda nga alutenga eno nga bw'alaamiriza. Kikakasibwa nti omwana mu lubuto abeera awulira. Balagirira ali olubuto ebintu by'alina okulya oba obutalya nga ali lubuto, asobole okuzaala omwana omulamu, ow'amaanyi ate omugezi. Omwana oluzaalibwa nga Jjajja w'omwana (omukazi) ne nnyina w'omwana, bafugika omwana ow'emabega ku kitooke ekisaanidde. Omuwala ku Nakitembe, omulenzi ku Mbidde. Wano okulaamiriza, okulambika omwana mu Kika ne mu Nnono we kutandikira. Balaamiriza emikisa gy'e Kika gibeere ku mwana, aganje mu nsi, abeere muzira, ayagale ensi ye era agirwanirire, agaggawale, emikisa n'emizimu gy'ebukojja ne egy'e Kika kye gyonna gimwagale, gimukuume. Bamukwasa Katonda, Liisoddene atambulenga naye.
Olumala okufugika omwana oyo, ate ne badda eka. Omwana bamusanga ku kifugi, Jjajjaawe omusajja n'aggyayo effumu lye n'alisonga ku kigere ekisajja ekya ddyo, eno nga bw'alaamiriza nti, "Kano ke Kasolya mw'ozaaliddwa. Oyise mu Luggya, nga oli mu Lunyiriri olukuggye mu Ssanya awabadde Amasiga, wali mu Mutuba we bakuzaalidde. Weddira Muziro gundi; oli wa Kika gundi; era bajjajjaabo be ba gundi ne gundi... Obeeranga omuntu ow'amazima, ayagala e Kika kyo, ayagala ensi yo, ayagala Obwakabaka bwo". Wano omwana w'afunira erinnya ery'oku kifugi, era eryo lye linnya kw'ayonkera. Ebyo byonna okukolebwa, nga baala Akaali, nga bwe buliri bw'omuwere. Eyo gye bamunaaliza mu kyogero, eyo gye batereka omwana n'obuzoota bwe, nga tebamuggyaayo okutuusa nga ekundi livuddeko akalira, nga n'okuwona liwonye. Ekkundi bwe livaako akalira, bakatereka okutuusa ku mukolo gw'Okwalula abaana.
Omwana bamukolera omukolo oguyitibwa "okufulumya omwana". Bamufulumya kiro nga omwezi gwaka. Omukolo gukolebwa nga ab'omu maka bonna bafulumye nga kuliko abaana abakuze abategeera ekikolebwa ne bamanya nti nabo ekyo kyabakolebwako. Jjajja omukazi atunuza omwana ku mwezi n'agamba nti, "Omwezi laba omwana; Omwana laba omwezi. Eyo gye twava era gye tulidda. Omwana agenda okukula okufuuka omuntu, nga amateeka gano gamuli ku mwoyo:
1. Okwagala ennyo Katonda ne bakaddebo, kubanga Katonda be yayitamu okukuteeka ku nsi. Buli kye bakugamba kitwale nga kiva wa Katonda. Abaganda bamanyi okugamba nti bakadde bo, ye Katonda wo ow'oku nsi.
2. Okwagala n'okussa ekitiibwa mu Kabaka n'Obwakabaka bwe. Okuwuliriza n'okugondera ebigambo bya Kabaka, kubanga abibaka kuva wa Katonda ng'ali ewa Nakku; ky'ava ayitibwa Kabaka.
3. Okwagala n'okussa ekitiibwa mu Kika ne mu bakulembeze baakyo.
4. Okwagala ensi yo n'okugikuuma ereme kusaanawo wadde okunyagibwa. Okukuuma ettaka kubanga lye lituliisa.
Abaganda okwagala ensi yaabwe tebakibasomesa busomesa, kibali mu musaayi. Abasomesa abantu okwagala ensi yaabwe, baabeera baagala kuwubisa abo ababeera batamanyi kye bafiirwa bwe batatwala nsi eno. Omuntu tebamusomesa kwagala Kika kye na nsi ye. Otandika otya okusomesa omuntu okwagala nnyina oba kitaawe
Okujjukiranga ebintu ebingi bwe bityo, Abaganda baateekawo "Ekyoto", kwe baatuulanga akawungeezi okukyetooloola, abo ababimanyi ne banyumiza abato n'abakulu abatabimanyi. Baatendekanga abantu ne bamanya obukulembeze bwabwe mu nnono, nga bwansikirano mu bukulembeze bw'e Bika ne mu bukulembeze obw'abasiige, abalondebwa okuweereza mu Bwakabaka. Baageranga engero; baaleetanga ebiyiiye, ennyimba, wamma ggwe n'okwata ebintu ebikunyumizibwa, naawe n'otandika okubinyumiza abo ababa batafunye mukisa kubiwulira ku kyoto kyammwe. Bwe batyo Abaganda bwe baasomesanga abato okumanya ebyo ebikwata ku nsi yaabwe.
Buganda mwoyo so si kifo bufo. Buli Abaganda we bakuŋŋaanira we wabeera Buganda. E Bika bikuŋŋaana ne bikola Obuganda, eryo ne liba nga ssaza eririmu abantu ba Kabaka abalina okukuuma Obuwangwa n'e Nnono za Buganda eyo gye bali.