MISS TOURISM BUGANDA 2026

NNALULUNGI W'EBYOLAMBUZI OMUJJA MU SSAZA KYADDONDO NANNONO PATIENCE NORAH ATIKIDDWA KU BWA NNALULUNGI 2026-2027.

May 16, 2026 Official Media 1 Views
NNALULUNGI W'EBYOLAMBUZI OMUJJA MU SSAZA KYADDONDO NANNONO PATIENCE NORAH ATIKIDDWA KU BWA NNALULUNGI 2026-2027.
Ekiro ekikeseza olwaleero nga 16/05/2026 Obwakabaka nga buyita mu kitongole kya Buganda Heritage and Tourism Board bulangiridde NNALULUNGI w'ebyobulambuzi omujja mu Ssaza Kyaddondo Queen Nannono Patience Norah. Ono okuwangula yabadde avuganya n'abawala abalala 9 okuva mu Ggombolola ezikola Essaza Kyaddondo ku za Nnalulungi w'Ebyolambuzi mu Ssaza Kyaddondo z’akamalirizo ezabadde ku Akamweesi Gardens ekiro ekyakesezza olwaleero. Ono yaddiriddwa 1st Runner Nakubulwa Vivian ne 2nd Runner Nakaayi Patience Kyagulanyi. Bano balangiriddwa abalamuzi okuva mu kitongole kya BHTB. Ku mukolo guno Kaggo yeyabadde omugenyi omukulu era ababadde bavuganya yabakuutidde obutakoma bukomi kubeera balungi, wabula n’okuyiiya ennyo naddala butya bwebasobola okweyambisa tekinologiya w'Ebyolambuzi ebirimu mu Ssaza okwezimba n'okuzimba Essaza lyaabwe Kyaddondo. Omukolo guno gwetabiddwaako abantu bangi okuva mu buwereza bwa Ssaabasajja Kabaka nga bakulembeddwa Kaggo n’Omumyuka we Asooka, Abakulu okuva mu kitongole ky'ebyobulambuzi mu Buganda nga bakulembedwa Ssentebe kyagulanyi Shafik, Abaami ba Ggombolola mu Kyaddondo, Obukulembeze bwa Buganda Yiyo Buganda Yange BYBY. Bano basanyusiddwa abayimbi abalala bangi. #MissTourismBuganda2026 #BugandaYiyo_BugandaYange
Share:

Comments (0)

No comments yet. Be the first to share your thoughts!

Leave a Comment