BANNAMITIMBAGANO NGA BAKULEMBEDWAAMU EKIBIINA KYA BUGANDA YIYO BUGANDA YANGE BAKIISE EMBUGA NE SHS. 4,100,000/=

Sep 10, 2026 93 Views
BANNAMITIMBAGANO NGA BAKULEMBEDWAAMU EKIBIINA KYA BUGANDA YIYO BUGANDA YANGE BAKIISE EMBUGA NE SHS. 4,100,000/=

​Olunaku lw'eggulo abantu ba Ssaabasajja Kabaka abakozesa emikutu emigattabantu okuli X/Twitter, WhatsApp, TikTok, Facebook, YouTube n'emikutu emirala gyonna bakiise embuga mu nkola ya Luwalo Lwaffe, abantu ba Kabaka mwe bayita okuteeka ensimbi mu ggwanika lya Buganda.

​Katikkiro Charles Peter Mayiga bwe yabadde atikkula Oluwalo luno yatendereza nnyo omukwano, obuwulize wamu n'obumaliririvu obwoleseddwa ekibiina kya Buganda Yiyo Buganda Yange mu kulaba nga kikumakuma wamu n'okulambika bannamutimbagano okuwagira emirimu gya Gavumenti ya Ssaabasajja Kabaka obutereevu.

​Mukuumaddamula yakatitiriza nti omulimu gw'okuzza ensi ya Buganda ku Ntikko gwa buli muntu, era kyongera okuwa essuubi nti abantu ba Buganda buli lukya ensonga eno bagitegeera nnyo. Wano yategeezezza nti emirimu gy'ekibiina kino agiraba bulungi era abagala nnyo mu byonna bwe bakola okulwanirira n'okutumbula ekitiibwa kya Buganda mu nsi yonna. Era yabasabye bulijjo obutatiisibwa ku nsonga za Buganda.

​Minisita wa Gavumenti Ez'ebitundu mu Bwakabaka bwa Buganda, Owekitiibwa Joseph Kawuki, naye mu bubaka bwe eri bannamutimbagano yatendereza nnyo nnyini ddala omwoyo gwa Buganda ogutafa ogwoleseddwa abantu ba Kabaka bano. Owekitiibwa yakinnogaanya nti omulimu ogukolebwa aba Buganda Yiyo Buganda Yange okusomesa abantu ba Buganda ku nsonga enkulu mu Bwakabaka, ate ne baveeyo okubeera eky'okulabirako nga bakola ebyo bwe basomesa abantu b'Omutanda, kya njawulo nnyo era n'abasaba obutakoowa kukola buvunaanyizibwa.

​Ssentebe wa BYBY ku lw'ekibiina yakatitiriza obweyamo bwabwe nga ekibiina okwongera mu maaso omulimu gwe baliko, n'okulwanirira wamu n'okukuuma okwolesebwa kwa Buganda mu nsi yonna nga bakozesa tekinoloogiya. Wano yategeezezza Katikkiro ku lutalo lwe balwana ku mikutu emigattabantu okulaba nga Buganda teddamu kuyitibwa "Central Region", wabula eyitibwe erinnya lyayo BUGANDA. Era Mungeri ey’enjawulo Ssentebe yebazizza mmemba wa BYBY eyasinze okuwayo oluwalo Omuzana Wanyana Kabejja BYBY41 eyawaddeyo ensimbi 250,000 bbe ddu.

Mungeri ey’enjawulo abantu ba Ssaabasajja Kabaka abalina kampuni zabwe bajjumbidde okuwagira enteekateeka nga bawayo nga bbo abantu ate ne kampuni zabwe okuggula certificate. Wano Ssentebe wa BYBY Mw Munaawa Dan yasabye bannamutimbagano bonna okuwagira emirimu gya Kampuni zino ezivuddeyo okuwagira Obwakabaka bwa Buganda.  Era zino ze kampuni 

  1. Blessed Fire Services Ltd 
  2. EKITTAVVU KYANGE NAAWE 
  3. Miller Nkedi Motors 
  4. Next Idea Premium Ushers 
  5. Koopser Retail Services 
  6. Suca Fire Protection Ltd 
  7. Obwavu Mpologoma Saving Group 
  8. Marcdon Concepts Ltd 
  9. SN Stationars 
  10. Wings Enstablishment.

​Ate ku lwa kampuni ezawagidde Oluwalo luno, aba Blessed Fire Services Ltd basanyukidde nnyo enteekateeka eno, era bwe batyo ne basuubiza bulijjo okutambula awamu n'ekibiina kino okukakasa nga ku kyo ekitono kye bafuna baddizako Obwakabaka bwa Buganda okusobozesa Kabaka okuteekateekera abantu be.

​Ensimbi 4,100,000/= zakukunganyiziddwa okuva mu bantu ba Kabaka ab'enjawulo wamu ne kampuni ez'enjawulo ku mikutu emigattabantu.

 

Awangaale Ayi Ssaabasajja Kabaka 

Share:

Comments (0)

Loading comments...

Leave a Comment