Omuganda okuva edda n'edda lyonna—emyaka kati egisobera ddala mu 3,000—alamulwa butonzi n'enkola z'obutonzi. Ate mu butonzi temuli ssemateeka wa bulijo nga muwandiike mu biwandiiko ebisobola okukyusibwa abantu olw'ebigendererwa byabwe buli kiseera.
Yee, Obwakabaka bwa Buganda bulina ssemateeka asimbye amakanda mu butonzi mwe tusibuka, era buli Muganda wadde yakazaalibwa aba amumanyi kubanga asibukira mu buli mwoyo ogujja ku nsi nga gutudde mu buntu obulina omubiri. Era okuva edda, nga n'abafuzi b'amatwale tebannajja wano, twalina ssemateeka omuwandiike obulungi mu buli mutima gwa Muganda nga awangiddwa mu buwangiro bwaffe. Bwatyo n'alondolebwa butereevu mu nnono zaffe era n'akumibwa butiribiri mu bulombolombo bwaffe, bwatyo n'ayita mu mulembe ogumu okugenda mu mulala okuyita mu kukuuma empisa zaffe wano Abaganda.
Tetumanyi oba tusobodde okulambika ensonga eno mu ngeri gy'emusobola okutegeera amangu, wabula ssemateeka wa Buganda wali nnyo emirembe gyonna nga si muwandiike mu biwandiiko wabula nga muwandiike mu buli mutima gwa Muganda azaalibwa wano. Ssemateeka waffe ono alamula okuva ku Kabaka, abalangira n'abambejja, ebika bya Baganda byonna, obutonde wamu n'obutonzi obuyimirizawo ensi Buganda, wamu n'olubaale lwonna olumamidde ensi eno Buganda.
Ffena Wamu, Tusobola Okukuuma Buganda, Ensi Yaffe