BYBY

BAKATIKKIRO BA KABAKA MUTEBI II n'okusomozebwa kwe basanze. (OWEEKITIIBWA JOSEPH MULWANYAMMULI SSEMWOGERERE)

May 15, 2026 Official Media 1 Views
BAKATIKKIRO BA KABAKA MUTEBI II n'okusomozebwa kwe basanze. (OWEEKITIIBWA JOSEPH MULWANYAMMULI SSEMWOGERERE)
Oweek. Joseph Mulwanyammuli Ssemwogerere. (1994 - 2005) Ekiseera Oweekitiibwa Joseph Mulwanyammuli Ssemwogerere ng'akutte Ddamula bingi ebyatukibwako naye tetulema kubajjukiza okumu ki kusomozebwa kweyasanga mu buweereza bwe obw'emyaka 12. ​Ebimu ku bintu ebyasinga okumusoomooza mu kaseera ke k’emyaka 12 mulimu bino wamanga: 1. Okuzimba Obwakabaka okuva mu mbeera embi ​Nga yakakwasibwa Ddamula, Bulange (ekitebe ky’Obwakabaka) kyali njerere, tewali bintu wadde ensimbi. Oweek Ssemwogerere yalina omulimu gw’okuzimba ebitongole by’Obwakabaka butereevu, sako n’okunoonya ensimbi z’okuddukanya emirimu gino mu kaseera ng’abantu b’Omutanda baavu nnyo. Okuzuukusa Lukiiko, n’okunoonya ebintu by’Obwakabaka byonna ebyali byatwalibwa. 2. ​Ensonga ye "Regional Tier": Kuno kwali kusoomooza kunenne nnyo mukiseera kye. Kubanga abaganda abamu ng'ate bakulu batuuka okugamba Katikkiro Ssemwogerere nti yaliddemu Buganda olukwe okukiriza ekiteeso kya Gavumenti eky'enkola eyo. Mukiseera kino Buganda yali esimbye amakanda kunsonga ya Federo wabula Gavumenti negana nesalawo nti mukifo kya Federo basooke batuuwe enkola eya Regional Tier nga bagamba nti wano era wagenda kubeerawo okuleka Gavumenti ez'ebitundu okwesalirawo kunkozesa y'omusolo gwe bakunganya nga tebasose kudda mu gavumenti waggulu. Kino kyavirako n’okuwummula kw’Abakiise n'Abakungu bangi mu Lukiiko lwa Buganda Olukulu, oluvannyuma lw’olukiiko lw’e Mengo okugoba ekirowoozo kya "Regional Tier" ekyali kireetedwa nti kye kigenda okuddira Federo mu bigere. 3. ​Ebbula ly’Ensimbi mu Bwakabaka. ​Yafuna okusoomoozebwa kw’ensimbi entono okuva mu basajja ba Kabaka. Kino kyamuwaliriza okunenyezebwa mu lujjudde Abaganda abo abeeyita nti baagala nnyo Obwakabaka naye nga tebabuwagira mu nsimbi, wadde okugula satifikeeti z’enkulaakulana y’Obwakabaka. 4. ​Ensonga y'Ebyaffe ​Yakulemberamu kaweefube ow’amaanyi okulaba nti ebintu by’Obwakabaka ebyanyagwa (Ebyaffe) ne ssente ebiri mu mikono gya gavumenti eya wakati biddizibwa. Kino kyatwala ebbanga ddene mu nteseganya ez’obukodyo n’ebyobufuzi eby’omutawaana abamu ne batandika n'okumugamba nti yalemeseza Ensonga y'Ebyaffe okugguka. 5. ​ Ebyobufuzi mu Bwakabaka Mukiseera ng'Obwakabaka bugibwawo, Buganda yali wakati mu byobufuzi ebya Uganda kubanga Ssekabaka Edward Muteesa Il ye yali Omukulembeze wa Uganda. Kino kyali kyakusomozebwa nnyo kubanga abaganda abamu bali bagala enteekateeka eyo eddewo. Nga Katikkiro ​yalina okutambula n’obwegendereza okukuuma ekitiibwa ky’Obwakabaka mu buwangwa, sako n’okukakkanya obunkenke bwa President Museveni eyali atya nti Mengo eyongera okufuna amaanyi n’obuyinza mu byobufuzi ekiyinza okuzawo ekyali mu 1962. Ebyo byebimu ku bitono byetusobodde kukugirayo ebyali okusomozebwa okunenne ennyo mukiseera kya Oweekitiibwa Joseph Mulwanyammuli Ssemwogerere. ANTI OBWA KATIKKIRO NDODDO....📌 #BYBYGaziyaOkumanyaKwo #BugandaYiyo_BugandaYange
Share:

Comments (0)

No comments yet. Be the first to share your thoughts!

Leave a Comment