MISS TOURISM BUGANDA 2026

🎊SSAZA SSINGO LIFUNYE NNALULUNGI W'EBYOLAMBUZI OMUJJA 2026-2027 QUEEN NAKABANDA PEACE DDUMBA 👸

May 17, 2026 Official Media 1 Views
🎊SSAZA SSINGO LIFUNYE NNALULUNGI W'EBYOLAMBUZI OMUJJA 2026-2027 QUEEN NAKABANDA PEACE DDUMBA 👸
Mukiro ekikesseza olunaku olwaleero nga 17/05/2026 Obwakabaka bwa Buganda wansi w'ekitongole kya Buganda Heritage and Tourism Board bulangiridde Nnalulungi w'Ebyolambuzi omujja Ssaza Ssingo 2026-2027 Queen NAKABANDA PEACE DDUMBA. Nnalulungi ono alangiriddwa ne banne abalala 2 okuli: 1st Runner NANYONGA EVELYN MIREMBE ne 2nd Runner NAMIREMBE SAMALI abayisewo okukikirira Essaza Ssingo kumutendera gw'Obwakabaka bwonna okufunako #MissTourismBuganda2026. Omugenyi omukulu era nga yatikkidde Nnalulungi omujja Omwami wa Kabaka amulamulirako Essaza Ssingo Mukwenda Deo Kagimu bwabadde eyogerako eri nnamungi w'abantu babadde bazze okulaba empaka zino akutidde abazadde okuyambako abaana babwe okumanya ebibakwatako ng'Abaganda era n'okubakuliza mumpisa zaffe wano kibayambe okufuna abawala nga bano abavumu emyaka egigenda okujja. Ye Omwogezi omugenyi ow'enjawulo era nga yabadde Omwogezi ow'enjawulo Hon Joyce Bagala Ntwatwa abadde MP omukyala owa Mitiyana mu ntanda gyasibiridde abazadde ne bannalulungi bonna, abasabye okunyweza obuwangwa, Empisa, Olulimi wano n'embala y'obuntubulamu okusobola okunyweza ekyo kyebali ng'Abaganda n'abantu ba Kabaka bonna. Nga amaliriza yebazizza nnyo Obwakabaka okuvayo n'enteekateeka eno eyambye abaana abawala okwekiririzamu n'okumanyika munsi yonna. Ssentebe w'olukiiko oluteekateeka #MissTourismBuganda2026 Mw Kyagulanyi Shafik naye mu bubaka bwe yebazizza Mukwenda wamu n'atwala ekitongole ky'Obuwangwa, eNnono n’Obulambuzi okukola enteekateeka ennungi bwetti. Era ajjukiza abawala bonna abavuddeyo okuvuganya nti bonna bawanguzi era nga Obwakabaka bubenyumirizamu okuvayo ne bavuganye mu mpaka zino. Oluvannyuma lw'okulangirirwa, Nnalulungi omujja yebazizza nnyo Obwakabaka, Essaza, Abasomesa wamu n'Abazadde abamuyambye okutuuka ku kkula lino, bwatyo asubiza nga ali wamu ne banne okukola ennyo okuwangulira essaza lyabwe obwa Nnalulungi w'Ebyolambuzi mu Buganda yonna. #TourBuganda #MissTourismBuganda2026 #BugandaYiyo_BugandaYange
Share:

Comments (0)

No comments yet. Be the first to share your thoughts!

Leave a Comment