MISS TOURISM BUGANDA 2026

SSAZA BUSIRO: 👸 MISS TOURISM OMUGGYA SSAZA BUSIRO QUEEN NABASUMBA RAHUMAH 2026-2027

May 24, 2026 Official Media 1 Views
SSAZA BUSIRO: 👸 MISS TOURISM OMUGGYA SSAZA BUSIRO QUEEN NABASUMBA RAHUMAH 2026-2027
Ekiro ekyakessa eggulo nga 23/05/2026 Ssaza Busiro lyafunye Nnalulungi w'Ebyolambuzi omuggya 2026-2027 Queen NABASUMBA RAHUMAH eyangudde banne abalala 12 mu mpaka ezabadde ku Das Berliner Hotel Bulenga. Obwakabaka nga buyita mu kitongole ky'ebyobulambuzi ki @TourBugandaUG bwe bwabadde bulangirira Omuwanguzi ono yaddiriddwa; 1st Runner Nabasilye Flavia, ne, 2nd Runner Namutebi Mercy. Nga bano abawangudde bagenda okukikirira Essaza Busiro mumpaka ezakamalirizo ez’Obwakabaka bwa Buganda. Omwami w'Essaza Busiro Ssebwana mu bubaka bwe yebazizza nnyo abaana abawala wamu ne bazzadde babwe okuvayo ne betaba mumpaka zino. Wano yayongedde okubasaba n'okujjukiza ekitongole kya Buganda Heritage and Tourism okuteekawo enteekateeka engerere enayamba abaana abawala bano abavayo okuvuganya okusigala nga bali bumu. Obubaka buno Ssebwana yabutiise Omwami wa Ggombolola Ssabawali Kasanje Andrew Benon Kibuuka eyamukikiridde. Ye omugenyi omukulu ku mukolo guno era nga y'omu ku bawabuzi ba President wa Uganda kunsonga Agro Tourism, yasiimye nnyo Obwakabaka bwa Buganda olw’enteekateeka nga zino ezigenderera okusitula abaana abawala mu Buganda okubeera ab'enjawulo munsi yonna. Wano era yasabye nti okuyita mu mpaka zino Obwakabaka bwongere amaanyi mutumbula Olulimi wano n'emmere yaffe kubanga kyabugagga nnyo munsi yonna. Ssentebe w'olukiiko oluteekateeka #MissTourismBuganda2026 Mw Kyagulanyi Shafik ye yategezeza nti empaka zino zigenderedde okusitula obusobozi bwa baana abawala era yasabye bonna abetabye mu mpaka zino okukozesa obumanyi bwe bafunye okukyusa Obulamu bwabwe. Yakikatiriza nti Obwakabaka ku mulundi guno butaddewo ekirabo kya KYAPA ky'ettaka eri omuwala agenda okuwangula mu Buganda yonna. Empaka zino zetwabwako ab'Ebitiibwa okuva mu Gavumenti ya Ssaabasajja Kabaka nga bakulembeddwa Oweekitiibwa Rashid Lukwago, abakulu okuva mu Gavumenti ya wakati wamu ne bannabusiro bangi nnyo. #TourBuganda #MissTourismBuganda2026 #BugandaYiyo_BugandaYange
Share:

Comments (0)

No comments yet. Be the first to share your thoughts!

Leave a Comment