OMUSOMO GWA BAMMEMBA BA BUGANDA YIYOBUGANDAYANGE.

Jun 23, 2026 43 Views
OMUSOMO GWA BAMMEMBA BA  BUGANDA YIYOBUGANDAYANGE.
Nga 21/06/2026 Ssentebe wa Buganda Yiyo Buganda Yange Mw. Munaawa Dan yakubiriza bammemba ba BYBY bonna okukozesa obulungi emitimbagano okukuuma n'okunyweza okwolesebwa kw'Obwakabaka bwa Buganda munsi yonna. Bino yabyogedde mu musomo gwa bammemba ba BYBY abajjuvu ogwayindidde mu kitebe ky'ebyobulambuzi mu Buganda ki Buganda Heritage and Tourism Board awo ku Lubiri e Mmengo. Omusomo guno gwetabiddwamu bammemba b'ekibiina bangi okuva mu bitundu eby'enjawulo era nga gwategekeddwa okwongera okulambika bammemba ku bikulu ebikwata ku Bwakabaka bwa Buganda kibayambe okutukiriza obuvunanyizibwa bwe balina okukuuma ensi yaffe Buganda. Egimu ku misomo egyabadde emikulu: 1. OBUVO, OKWOLESEBWA N'EMIRAMWA EMIKULU EGYA BYBY. 2. EBYAFAAYO BYA BUGANDA N'ENGERU GYETUSOBOLA OKUGINYWEZA MUFFE. 3. ENKULAKULANA MU BAMMEMBA (EKITTAVVU KYANGE NAAWE). Bammemba ababaddewo basanyukidde nnyo omusomo guno era bebaziza nnyo olukiiko olukulembeze olw'okulaba nga wabeerawo emiramwa egisitula Obwakabaka okuyita ku mitimbagano. Era beyamwe okwongera okukozesa Emikuttu gyabwe okutambuza amawulire amatuffu wamu ne miramwa eginyweza abantu ba Kabaka ku kwolesebwa kwa Buganda. Ye Omuwandisi w'ekibiina kino Mulangira Kalema Abubaker yajjukiza bammemba ekitiibwa n'obukulu obuli mu kuweereza Obwakabaka nga bakozesa emitimbagano. Ku lwa Ssentebe w'EKITTAVU KYANGE NAAWE, Mky Nassimbwa Sarah Nviiri Omumyuka we yayongedde okulambulula kunteekateeka eno era bammemba bonna ne bavayo ne bewandiisa mu bwegassi buno. Oluvanyuma lw'Omusomo Ssentebe wa BYBY Munaawa Dan yatongoza #BYBYLuwaloLwaffe2026 era nalagirira akakiiko akagenda okukulemberamu omulimu gw'okunonya OLUWALO 2026 okuva mu bannamitimbagano nga kakulemberwa Mulangira KalemaAbubaker. Oluwalo lwakutwalibwa embuga nga 08/09/2026 Era nakakiiko akagenda okukulemberamu #BYBYBulungibwansi yalangiriddwa ku mukolo ogwo era kano kagenda kukulemberwamu Amyuka owa Pulojekiti, Enteekateeka n'Enkulakulana mu BYBY Mky. Nassimbwa Sarah Nviiri #BugandaYiyo_BugandaYange
Share:

Comments (0)

Loading comments...

Leave a Comment