General

OBUBAKA BWA SSAABASAJJA KABAKA OBWA EID EL-FITR 2026 🌙

Mar 19, 2026 Official Media 1 Views
OBUBAKA BWA SSAABASAJJA KABAKA OBWA EID EL-FITR 2026 🌙
Twebaza Allah atutuusizza ku lunaku luno olw`ekitiibwa. Tubeebaza okusiiba era tubakubiriza bulijjo ensonga y’okusiiba n’okwegayirira Allah, essibwemu ekitiibwa olw’ebirungi ebigirimu ebiyamba omuntu ssekinnoomu n’eggwanga lyaffe. Tubakulisa okuyita mu biseera eby’okulonda abakulembeze baffe ku mitendera egy’enjawulo. Tusuubira nti, abaalondebwa banaatuukiriza ebyo bye baasuubiza abaabalonda n’okusingira ddala, okulwanyisa obuli bw’enguzi n’okusitula embeera y’obwavu abantu baffe gye balimu. Tuwulidde obugulumbo obutali bumu mu bitundu bya Uganda naddala mu Buganda oluvannyuma lw’ekiseera ky’akalulu. Tukubiriza wabeewo empuliziganya wakati wa bonna abeetaba mu kulonda kiyambe okunyweza emirembe egyannamaddala. Abantu baffe bangi naddala abavubuka beeyunidde nnyo omukutu gw’empuliziganya ya TIKTOK. Tulowooza nti, omukutu nga guno guyamba okutuusa amawulire eri bantu baffe naye, tusaba abavubuka baffe bagukozese nga bawa amawulire amatuufu n’okwogera ku bintu ebizimba eggwanga omuli okusomesa eddiini, ennima ey’omulembe, eby’ensoma, obujjanjabi n’ebirala okusinga okwanika n’okuvuma abantu. Tubasaba okwongera okusabira Obwakabaka bwaffe n’obufuzi obulumirirwa omuntu wa bulijo n’okumuyamba okukyusa embeera y’obwavu abasinga gye balimu n’okukuuma ebintu byabwe omuli ebibanja n’ettaka. Tubaagaliza okukuza Eid El-Fitr n’emirembe Katonda Abakuume
Share:

Comments (1)

S
Ssenyana Omuzirante
Mar 20, 2026
Mwebale obuwereza
Leave a Comment