General

EKIBIINA KYA BUGANDA YIYO BUGANDA YANGE TUKIIKSE EMBUGA OKWANJULA MINISITA WORKPLAN YA 2026.

Mar 18, 2026 Official Media 1 Views
EKIBIINA KYA BUGANDA YIYO BUGANDA YANGE TUKIIKSE EMBUGA OKWANJULA MINISITA WORKPLAN YA 2026.
Nga 18 Mugulansigo 2026, ekibiina kya Buganda Yiyo Buganda Yange bakiise Embuga okwanjulira Minisita w’Amawulire enteekateeka zaabwe mu omwaka guno 2026 omuli; enteekateeka y'okwekulakulanya nga EKITTAVVU ekigenda okutandikibwawo, enteekateeka engenderere okukunga bannamutimbagano okujjumbira enteekateeka z'Obwakabaka nga #KabakaBirthdayRun2026, Amatikkira, Oluwalo n'endala nyingi, okulambula Buganda wamu n'okulambula Obutaka bwe Bika, okuzimba empuliziganya ne bannamutimbagano okuyita mu X Space wamu ne Pulogulamu ya GAZIYA OKUMANYA KWO, okukuba enkiiko zaabwe ku mutimbagano nga zikungaanya abantu ab’enjawulo nga bakubaganya ebirowoozo ebizimba Obwakabaka, okukulakulaanya ekittavu kyabwe, okutandiikawo pulojekiti ez’enjawulo ne bammemba baabwe abawangalira ebweru w’eggwanga (diaspora chapter). Oweekitiibwa mu bubaka bwe asabye bannakibiina kino Buganda Yiyo Buganda Yange okwefumiitiriza ennyo ku bubaka bwa Ssaabasajja Kabaka obwa Eid El-Fitr 2026 mw'asabidde abavubuka okukozesa obulungi emitimbagano. Oweek. Kazibwe asanyukidde nnyo enteekateeka yaabwe ey’ekittavu n’abakubiriza okulabira ku bibiina nga CBS PEWOSA engeri gye byatandikamu okutuuka kati nga bisitudde n’ebizimbe ebirabwako era agamba nti kino kye kimu ku bintu ebigenda okubayambako okwekulakulaanya mu bulamu bwabwe. Oweekitiibwa yebazizza nnyo omulimu omunenne ogukolebwa ekibiina kino naddala nga bayamba abantu ba Ssaabasajja Kabaka abakozesa emitimbagano okumanya amawulire amatuffu agava embuga. Minisita ng'amaliriza ajjukiza bammemba b'ekibiina kino nga bakozesa emitimbagano okumanyisa n'okunyweza Ensonga za Buganda Ssemasonga Ettaano (5). Ssentebe w'ekibiina kino yeyamye mumaaso ga Minisita nti ekibiina kya Buganda Yiyo Buganda Yange kigenda kwongera amaanyi munteekateeka ezigenderera okusitula ekitiibwa kya Buganda ku mikutu emigatabantu gyonna gyonna. Era ku lw'ekibiina yebazizza nnyo Oweekitiibwa okulambika obulungi ekibiina kino.
Share:

Comments (2)

M
MUNAAWA DAN
Mar 18, 2026
#BugandaYiyo_BugandaYange tweyanziza nnyo Oweekitiibwa tweyazenge
S
Ssemakula Wycliffe Davis
Mar 18, 2026
Oweekitiibwa tumwebazizza nnyo okufaayo okulaba ng'Abavubuja batandika okukozesa omutimbagano obulungi.
Leave a Comment