General

ENSI BUGANDA, ENSI YAFFE.

Mar 18, 2026 Official Media 1 Views
ENSI BUGANDA, ENSI YAFFE.
Bwe twogera ku nsi Buganda twogera kuntandikwa y'okubeerawo kw'abantu munsi yonna. Kino kiri bwekityo kubanga okunonyereza okugenda kukolebwa kwoleka nti Buganda kyekiku kubifo ebitono ennyo ebyakazulibwamu ebisigakirwa by'abantu abaliko kunsi kuno emyaka egisoba mu mitwalo abiri (200,000). Kino bwokisoma kijja kukuberera kizibu okukiriza kubanga okunonyereza kuno kukyagenda mumaaso. Naye nga abamu ku banonyereza abakadde bino bali babiraba wabula Omungereza nasalawo okutwala okunonyereza okwo nakukweka munsi ye era abantu abagenzeko ebungereza basobola okutegera kyengamba nti eyo waliyo ebitabo ebyogera ku Buganda ddala ebikukulire bye batagala tumanyeko yadde. Obuwangwa, eNnono, Obulombolombo, empisa, n’entegeka y'abantu ba Buganda mu bika byaffe gubadde mugongo ogunywezezza ensi eno okumala ekyasa n’ekyasa ekyongera okulaga nti Buganda si nsi yajjo wano, wabula ebaddewo era yali ntegeka okuva ewa Tonda. Ebigambo ebyo twagadde okubibategeza naddala mwe abantu ba Ssaabasajja Kabaka mwenna okukiririza mu bukulu bwamwe bwe mulina eri Ensi yonna okuva mu kutondebwa kwayo. Olulimi Oluganda lulimu amagezi mangi nnyo amakusike agajjayo ebintu bingi nnyo bajjajjaffe be batulambike ne ba bikweka mu Lulimi. Mu ngero n’ebissoko, mwe muli ebyama by’obulamu n’okubeerawo kw’omuntu gwe twogerako wano. Gwe assoma ebigambo bino twagadde okukujjukiza nti oli muntu mukulu nnyo era w'amaanyi nnyo. Bulijjo tukujjukiza wenyumirize nnyo mwekyo kyoli gwe munnaffe era kola nnyo okwagazisa abaana bo ekyo kyoli kubanga oli muntu wanjawulo nnyo. Nga tuli mulugendo okuzza Ensi Buganda mukifo kyayo tuba tutegeza gwe okuddamu okukomawo mukifo kyo gwe era okukola ennyo okukomyawo ekitiibwa kyo gwe mu nsi bwetuli. Buganda emirembe gyonna abaddewo olw'abantu bayo abasitukiramu okukola obuvunanyizibwa bwabwe okulaba nga Ddala Buganda enywezebwa obutasagasagana. Twagala okutwala omukisa guno okukuzukusa gwe abadde tomanyi kyoli okutegera amaanyi ago era n'okukola ebyo byonna ebitwala Buganda ensi yaffe ku Ntikko. Abavubuka, mmwe mayinja aganyweza ennyumba yaffe Buganda. Obukulu bwa Buganda tebuli mu bitabo byokka n'abigambo bino, wabula buli mu mikono gyammwe egikola ne mu birowoozo byammwe ebitonzi, tusaba mwenna okuteka ebigambo ebyo mu mitima gyamwe Mukiseera kino nga tugenda okujjaguza amazaalibwa ga Ssaabasajja Kabaka, tubajjukiza okuvayo okuggula mwenna mwenna wano Emijjoozi gya #KabakaBirthdayRun2026. Emisinde gino si kinyumu kya kusaaga, wabula kusaasaanya bulamu (okulwanyisa endwadde nga siriimu oba eza munda). Omuntu omulamu, ye Buganda ennamu. Kino si lufuutifuuti lwa byafaayo, wabula kwe kuzuukusa kw'omwoyo gwa Buganda oguli mu musaayi gwo. Weebale okuba omu kwabo abasitula n'okunyweza ensi yaffe Buganda. Tugende mu maaso n'omwoyo ogwo nga tuzza Buganda ku Ntikko
Share:

Comments (0)

No comments yet. Be the first to share your thoughts!

Leave a Comment