General

DAY3🔥: OKUKUNGA ABAYIZI MU SSETTENDEKERO WA KIU OKUVUGANYA MU #MISSTOURISMBUGANDA2026

Apr 02, 2026 Official Media 1 Views
DAY3🔥: OKUKUNGA ABAYIZI MU SSETTENDEKERO WA KIU OKUVUGANYA MU #MISSTOURISMBUGANDA2026
Olwaleero enteekateeka y'okukunga abaana abawala n'abalenzi mu Universities ezisangibwa mu Buganda kuyigidde olunaku olw'okubiri era nga enteekateeka eno leero ebadde mu Ssettendekero wa KAMPALA INTERNATIONAL UNIVERSITY e Kansanga. Ssentebe wa Nkobazambogo mu munsi yonna Mw. Ssemujju Moses bwabadde ayogerako eri abayizi ku nteekateeka eno abakalatidde n'obumaliririvu bwonna bavuganye kungule eyo. Era abajjukiza nti ng'Abavubuka ab'omulembe Omutebi batekeddwa okukozesa omukisa guno n'abo okutumbula eby’obulambuzi by'ensi yabwe Buganda mu nsi yonna. Ku lw'olukiiko oluteesiteesi olwokuntiiko Ssentebe Mw. Kyagulanyi Shafik akawodde abayizi bonna ku Kampala International University mu kibiina kya Nkobazambogo okuvayo mu bungi bavuganye era bawangule engule eno. Bwatyo mungeri ey’enjawulo eyongedde okutangaza kunteekateeka ya MAN OF TOURISM BUGANDA era ategezeza nti buli Ssaza wagenda kuvayo Omulezi omu agenda okuvuganya ne banne abalala okuva mu Masaza amalala aga Buganda. Ssentebe wa Nkobazambogo mu KIU asanyukidde nnyo enteekateeka y'ekitongole ky'ebyobulambuzi eno era bwatyo akunze abayizi bonna okuvayo okujjumbira enteekateeka eno kubanga kigenda kwongera amaanyi mu buweereza bwabwe. #MissTourismBuganda2026 #BugandaYiyo_BugandaYange
Share:

Comments (0)

No comments yet. Be the first to share your thoughts!

Leave a Comment