General

DAY4πŸ”₯: OKUKUNGA ABAYIZI MU MENGO HOSPITAL SCHOOL OF NURSING AND MIDWIFERY OKUVUGANYA MU #MISSTOURISMBUGANDA2026

Apr 04, 2026 Official Media 1 Views
DAY4πŸ”₯: OKUKUNGA ABAYIZI MU MENGO HOSPITAL SCHOOL OF NURSING AND MIDWIFERY  OKUVUGANYA MU #MISSTOURISMBUGANDA2026
Enteekateeka eno eyingidde olunaku olw'okuna n'obubaka obukunga abayizi bonna mu MENGO HOSPITAL SCHOOL OF NURSING AND MIDWIFERY okukozesa obumanyi bwe balina n'obuvumu bwabwe okuvayo mu maanyi okuvuganya ku bwa Nnalulungi w'Ebyolambuzi mu Buganda. Ku lw'ekitongole kya @TourBugandaUG Mw. Kakembo Allan akalatidde abaana abagenda okuvayo okuvuganya okutwala omukisa guno okutunda Ensi yabwe Buganda munsi yonna. Era wano alambuludde kunsonga lwaki munteekateeka Obwakabaka bwa Buganda bwetaga abaana abaganda okuvuganya ku #MissTourismBuganda2026, wano ategezeza nti empaka zino ziri bwezityo kubanga okuviira ddala waggulu ku Miss Tourism Uganda nti abagenda okuvuganya balina kubeera nga ddala baana nzaalwa ya Kitundu. Ssentebe w'enteekateeka ya #MissTourismBuganda2026 Mw. Kyagulanyi Shafik ategeezezza nti Enteekateeka eno egenderedwamu okulaba nga abayizi bamanya amasaza gabwe era n'okusoma ebikulu ebibakwatako ng'abantu omuli ensibuuka, n'ebirala. Olwo musobole okuvuganya okuva mu Masaza, kubanga tosobola kubeera Miss Tourism Buganda Kingdom nga tosose kuvuganya mu miss Tourism Masaza level Ye Nnalulungi w'Ebyolambuzi Queen Kirumira bwabadde eyogerako n'abayizi abalazze nti bonna basobole okuvuganya ate era n'okuwangula singa bekiririzamu nga abantu awatali kuwuliriza abo abagamba nti tebasobola. Abategezeza nti naye yali teyekiririzamu olw'ebigambo ebingi naye bwe yasituuka n'obuvumu wamu n'obumaliririvu yasobola okuwangula, bwatyo abasabye obutatya kubanga ebintu bino babisobolera ddala n'okusinga ku ye. Enteekateeka eno yetabiddwako abayizi abegatira mu kibiina kya Nkobazambogo mu Ssomero lino, era abaana abawala n'abalenzi basanyukidde enteekateeka eno era ne basubiza okuvayo mu bungi bavuganye era bawangule . #MissTourismBuganda2026 #BugandaYiyoBugandaYange
Share:

Comments (0)

No comments yet. Be the first to share your thoughts!

Leave a Comment