SSINGO EWERA! Mukwenda atongozza olukiiko. Baleese Emmy Kisaakye ne Micheal Bukenya ku butendesi.

May 06, 2026 Cliff 85 Views
SSINGO EWERA! Mukwenda atongozza olukiiko. Baleese Emmy Kisaakye ne Micheal Bukenya ku butendesi.
Nga 05/05/2026 Mukwenda Deo Kagimu atongozza olukiiko olugenda okukulembera ttiimu y'omupiira y'essaza ly'e Ssingo 2026 mu mpaka ez'Amasaza ga Buganda ezimanyiddwa ennyo nga 'Masaza Cup'. Ow'essaza ayanjulidde Bannassingo abazze mu bungi ku Mbuga olukiiko lwonna era n'asaba Bannassingo okuyimirira n'olukiiko luno okulaba nga bagatta amaanyi okuwangula ekikopo kya Masaza 2026. Muzzukulu wa Kasujja Oweek. Deo Kagimu bw'abadde tannaba kwanjula lukiiko luno asoose kwebaza ab'olukiiko olukadde abaasobola okutuusa SSINGO ku Fayinolo y'omwaka oguwedde (2025) Era atenderezza nnyo HON. HAJJI ABDUL BISASO olw'obukulembeze bwe obulungi. Ono atenderezza nnyo ab'olukiiko b'omwaka 2025 bonna olw'obuguminkiriza ku ddimu eryabaweebwa ssaako n'okuweereza n'omutima gumu. Oweekitiibwa yeebazizza nnyo abavujjirizi bonna abazze bawaayo ensimbi okulaba ng'emirimu gya tiimu yaabwe gitambula bukwakku era bangi baweereddwa n'amabaluwa agabasiima. Oweekitiibwa yeebazizza Bannassingo abaakuuma empisa n'obutebenkevu omwaka oguwedde kyokka n'akiikira ensingo abo abaasiwuuka empisa omwaka oguwedde (2025) era n'abasaba okwekuba mu kifuba battukize obumu okulaba nga bakuumira ekitiibwa ky'Obwakabaka waggulu n'ebigendererwa ebirungi eby'empaka zino ez'Amasaza era, bw'abadde ttannalangirira lukiiko, Mukwenda ayise musajja we Hajji Ssekabira Abdul Lukooya okubaako by'atangaaza eri Bannassingo ababaddewo mu nsonga z'okwerinda ku kisaawe. Hajji Ssekabira ategeezezza nga bw'agenda okuleeta omusomo ku by'okwerinda mu bbanga ettono ddala era n'awa olukiiko lw'essaza shs 1m. Batandikireko okutambuza emirimu. Oluvannyuma, Oweek. alangiridde olukiiko nga; 1. Mw. Ssekajja Ronald - Ssentebe 2. Mw. Lule Hassan - Technical (ow'ebyekikugu) 3. Mw. Sserebe Sam - Muwandiisi 4. Mw. Ssegawa God - Muwanika 5. Mw. Muwada Ramathan - Manager 6. Mw. Wankota Joseph - Byakwerinda 7. Mw. Ssemakula Wycliffe - Media Officer 9. Ssaalongo Kakande Miti - Wa mbabulungi 8. Mw. Yunusa Musa - Akulembera Abawagizi 9. Omukyala Nannyondo Jamirah - Kitunzi wa ttiimu Bbo abalala kuliko abamyuka ba Ssentebe okuli; - Mw. Kayongo Peter abadde omuwanika ku tiimu eno omwaka oguwedde 2025 - Hajjat Hadijjah Ssesaazi - Mityana - Hajji Ssekabira Abdul - Kassanda - Mw. Atukwatse Geoffrey - Kiboga Kw'ossa n'abalala omubadde; 1. Mw. Kiwutta Patrick - Mumyuka w'omuwandiisi 2. Mw. Kaliisa Steven - Mumyuka wa Manager 3. Mw. Ssemmanda Simon - Mumyuka wa Media Officer 4. Omukyala Nabadda Milly - Mumyuka w'ebyembabulungi 5. Abakyala okuli Kyosaba Ketra ne Aisha Namakula bano bonna bamyuka ba kitunzi wa ttiimu. 6. Mw. Lutakome Richard - Mumyuka w'Abawagizi e Mityana 7. Mayor Sewannyana Godfrey - Mumyuka wa Ssentebe w'Abawagizi e Kyankwanzi. Bbo Abayima ba tiimu Mukwenda alonze; 1. Hon. Abdul Bisaso - MUT. V Kiganda 2. Hon. Judith Nnaabakooba - Ssaabagabo Ssekanyonyi 3. Hon. Francis Butebi - Mumyuka Busimbi 4. Rt. Rev Dr James Bukomeko Ssaalongo - Mumyuka Busimbi 5. Rv. Fr. Kyambadde Simon Peter - Mumyuka Busimbi Bbo Abawabuzi kuliko 1. Hajji Farid Lakhan 2. Mw. Ssembogga Lawrence 3. Mw. Mukasa Sam 4. Mw. Ntoowe Hamuza 5. Mw. Sseŋŋendo Sulait Mambo N'abalala bangi. Ng'owessaza amalirizza okutongoza olukiiko luno, ye Ssentebe omuggya Chairman Ssekajja Ronald agumizza Bannassingo nga bwagenda okukola obutaweera okulaba nga ye ne banne bawangulira SSINGO ekikopo kya Masaza 2026 era n'abuulira Bannassingo ttiimu yaabwe nga bweyimiridde kwossa n'okubategeeza nga bwe bayungudde eggye ly'abasambi erigenda okubaleetera ekikopo ky'Amasaza 2026. Ono ayanjulidde Bannassingo olukiiko olutendesi Ow'essaza lino 2026 okuli. 1. Emmy Kisaakye - Head coach 2. Micheal Bukenya - Asst. Head Coach 3. Ssembatya Godfrey - 2nd Asst Head coach / Fitness 4. Ssempijja Joseph - Goal keeping Coach 5. Team Doctor - Mutumba Hamuza, n'abalala. Ye Head Coach Emmy Kisaakye ategeezezza Bannassingo nga bwebagenda okulaba ku mupiira omuzungu ku ssaza ekicamudde ennyo Bannassingo nga gye biggweredde Bannassingo bagenze bamativu nga beesunga kijja mu mpaka z'Amasaza ga Buganda ezigenda okuddamu okutojjera mu gw'omukaaga. Okutongoza olukiiko Lw'essingo lwetabiddwamu Bannassingo bangi nnyo abajjuzizza Eddiiro lya Mukwenda, Mukwenda n'omumyuka we 3 Mw. Stephen Jjumba, Bannamawulire, Nnalulungi w'essaza Ssingo ow'ebyobulambuzi, Abaami n'Amagombolola mu Ssingo, Abakungu okuva mu FUFA, Bannassingo n'abalala bangi. Bikomye!
C
Cliff
editor
Share:

Comments (0)

Loading comments...

Leave a Comment