General

TTABAMIRUKA WA NKOBAZAMBOGO MU GGWANGA LYONNA

Apr 24, 2026 Official Media 1 Views
TTABAMIRUKA WA NKOBAZAMBOGO MU GGWANGA LYONNA
Olunaku lw'eggulo nga 23/04/2026 ekibiina kya Baganda NKOBAZAMBOGO mu Ggwanga lyonna bafunye ttabamiruka wabwe nga yatudde mu Bulange Mmengo era nga Minisita w'Abavubuka, Emizannyo n'Ebitone Oweekitiibwa Robert Sserwanga ye yabadde omugenyi omukulu. Ebimu kwebyo ebyasososwaziddwa mu ttabamiruka ono y'ensonga y'okukunga bannankobazambogo bonna okuvayo mu bungi okujjumbira enteekateeka ya #MissTourismBuganda2026. Era ekiteeso nekiyisibwa Nkobazambogo okukuunga abayinzi mu zi University zabwe okuvayo okuvuganya wamu n'okuwagira abo abagenda okuvuganya. Minisita w'Abavubuka yategezeza abavubuka ba Nkobazambogo nti kikulu nnyo okuvangayo ne bakulembera munteekateeka nga #MissTourismBuganda2026 nendala kubanga omulembe Ssaabasajja Kabaka yagukwasa Bavubuka. Nabwekiyo buli nteekateeka yonna wano mu Buganda erimu abavubuka balina okukimanya nti yabwe era basanidde okugyetabamu olwo lwe banasobola okuza Buganda ku Ntikko. Yee Ssentebe w'olukiiko oluteekateeka #MissTourismBuganda2026 Mw. Kyagulanyi Shafik yalambuludde kunteekateeka eno era nasaba bannankobazambogo okugenda bavuganye mu Masaza gabwe basobole okutwala engule ya MissTourismBuganda2026 nga 12/06/2026 ku Hotel Afrikana. Bannankobazambogo nga bakulembedwa Ssentebe wabwe Mw. Ssemujju Moses beyamye okwongera okukunga bannabwe bonna mu University okuvuganya ku bwa Nnalulungi w'Ebyolambuzi mu Buganda. Era basubiza nti buli mwaka bagenda kwetaba butereevu munteekateeka eno. #MissTourismBuganda2026 #BugandaYiyo_BugandaYange
Share:

Comments (1)

M
MUNAAWA DAN
Apr 24, 2026
Mwebale nnyo abavubuka era tusaba munyweza ensonga zino
Leave a Comment