OLUWALO KYEKI?? ERA LWAKI TULWENYIGIRAMU?
Oluwalo y'enkola y'okuwaayo ssente, obuyambi okuwagira n'okukulaakulanya Obwakabaka bwa Buganda.
Enkola eno ebaddewo emyaka ne myaka, nga Buganda Yiyo Buganda Yange twagala okuyambako Obwakabaka okutukiriza okwolesebwa kwabwo okulaba nga wakiri abantu 1,000,000/= n'okusoba buli mwaka bavayo ne bawagira Obwakabaka okuyita munkola eno.
Ssente eziva mu Luwalo ziyambako Ssaabasajja Kabaka wamu ne Gavumenti okukola emirimu emingi egikolebwa mu Buganda olwaleero. Nga mugino mulimu:
1. Okuzimba amalwaliro mu Masaza ga Buganda.
2. Okuyambako kunsaawo ya Kabaka Education Fund kabaka mwayita okuwerera abaana
3. Okutegeka ensisira z'ebyobulamu okulaba nga abantu ba Kabaka babeera balamu ekiseera kyonna.
4. Okukulaakulanya ebitongole by'Obwakabaka ekintu ekiwadde abantu ba Kabaka emirimu okusobola okwebezawo.
5. Okusitula eby'obulimu mu Buganda abantu abalina ettaka mwebayita okufuna ensimbi ezibabezawo wamu n'abantu babwe.
Naye ekigendererwa ekikulu munteekateeka kwe "Okuzza Buganda ku Ntikko: Ssaabasajja Kabaka yaazzaawo enkola eno okulaba nga wadde Obwakabaka tebufuna musolo busobola okuyimirizawo buli nteekateeka zabwo nga bwekyali okuva edda nedda lyonna.
Wano wensabira gwe asomye obubaka buno okuwayo kyonna kyolina okuwagira Obwakabaka.
Weereza Oluwalo lwo 0757 068 605 Ndagire Christine. Tewerabira kunonyako okukuwandika erinnya erinalabikira ku certificate okuva embuga.